Isaiah 19:11-16

11 aAbakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 bKale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 cAbakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14 d Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 eTewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 fKu lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali.
Copyright information for LugEEEE